Numbers 21:26-28

26 aKesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni.

27Abayiiya ennyimba kyebaava bayimba nti,

“Mujje e Kesuboni kizimbibwe;
ekibuga kya Sikoni kizzibwewo.

28 b“Omuliro gwafuluma mu Kesuboni,
ennimi z’omuliro ne ziva mu kibuga kya Sikoni.
Gwayokya Ali ekya Mowaabu,
n’abatuula mu nsozi za Alunoni.
Copyright information for LugEEEE